Ezekiel 46:1-3

1 a“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. 2 bOmulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. 3 cBwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
Copyright information for LugEEEE